Acts 18:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye oba empaka zammwe ziri ku bigambo na mannya na ku mateeka gammwe, mmwe muba mulaba. Sandyagadde kubeera mulamuzi mu nsonga zino.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ensonga zammwe nga bwe zifa ku nkozesa y’ebigambo n’amannya, era nga zikwata ku mateeka gammwe, kirungi mmwe muzeemalire. Nze saagala kusala musango gw’ebyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye oba nga ensonga zammwe zikwata ku kubuuzagana kw'ebigambo, n'amannya n'amateeka gammwe, nze saagala kusala musango gw'ebyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
naye oba ng'ebyebuuzibwa bifa ku bigambo, ne ku mannya, ne ku mateeka gammwe, mmwe mubikoleko, nze sijja kubiyingiramu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye oba nga waliwo okubuuzagana okw'ebigambo: n'amannya n'amateeka agali mu mmwe, ekyo kyammwe: nze saagala kusala musango gw'ebyo.