Acts 18:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bonna ne bakwata Sostene omukulu wa sinaagooga, ne bamukubira mu maaso g'embuga. Ye Galliyo teyabyefiirako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bonna ne bakyukira Sossene, eyali omukulembeze omuggya ow’ekkuŋŋaaniro, ne bamukwata, ne bamukubira awo mu maaso g’embuga z’amateeka. Kyokka Galiyo teyabafaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna ne bakwata Sossene omukulu w'ekkuŋŋaaniro ne bamukubira awasalirwa emisango. Kyokka era Galiyo teyabafaako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bonna ne bakwata Sositene, omukulu w'ekkuŋŋaaniro, ne bamukubira awasalirwa emisango. Era Galiyo n'atafaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bonna ne bakwata Sossene omukulu w'ekkuŋŋaaniro ne bamukubira awasalirwa emisango. Era Galiyo teyafaayo mu bigambo ebyo.