Acts 18:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo gye yasanga Omuyudaaya omu, erinnya lye Akwila, enzaalwa y'omu Ponto, nga ky'ajje ave mu Yitale ne mukazi we Prisilla, kubanga Kulawudiyo yali alagidde Abayudaaya bonna okuva mu Roma. N'agenda abalabe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eyo gye yasisinkana omusajja Omuyudaaya erinnya lye Akula, eyazaalibwa mu Ponto, nga yaakava mu ltaliya ne mukazi we Pulisikira, kubanga Kulawudiyo yali awadde ekiragiro okugoba Abayudaaya bonna mu Ruumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyo gye yasisinkanira omusajja Omuyudaaya erinnya lye Akula, eyazaalirwa mu Ponto, yali kyajje ave mu Italiya, ne mukazi we Pulisikira, kubanga Kulwawudiyo yali alagidde Abayudaaya bonna okuva mu Ruumi: n'ajja gye baali;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'asangayo Omuyudaaya erinnya lye Akwila, enzaalwa y'omu Ponto, ne mukazi we Prisikila. Baali kye bajje bave mu Yitaliya, kubanga Kulawudiyo yali alagidde Abayudaaya bonna bave mu Rooma. Pawulo n'agenda gye bali,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alaba omuntu Omuyudaaya erinnya lye Akula, eyazaalirwa mu Ponto, yali kyajje ave mu Italiya, ne mukazi we Pulisikira, kubanga Kulwawudiyo yali alagidde Abayudaaya bonna okuva mu Ruumi: n'ajja gye baali;