Acts 18:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'asiibula ng'agamba nti: “Katonda ng'ayagadde ndikomawo gye muli.” N'asaabala okuva mu Efezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Nsaana okugenda ndyoke nsobole okubaawo ku mbaga ejja mu Yerusaalemi.” Kyokka n’abasuubiza nti agenda kukomawo mu Efeso nga Katonda amukkirizza. Bw’atyo n’asaabala ku nnyanja okuva mu Efeso.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye n'abasiibula n'agamba nti, “ Ndikomawo nate gye muli Katonda ng'ayagadde.” Bwatyo n'asaabala ku nnyanja n'avaayo mu Efeso.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abasiibula, n'abagamba nti: “Katonda bw'alyagala, ndikomawo gye muli.” N'asaabala, n'ava mu Efeso.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye n'abasiibula n'agamba nti Ndikomawo nate gye muli Katonda ng'ayagadde, n'awanika amatanga n'avaayo mu Efeso.