Acts 18:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo ng'amazeeyo akabanga, n'asitula, n'agenda ng'ayitaayita mu nsi y'e Galasiya ne Firugiya ng'anyweza abayigirizwa bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eyo n’amalayo ekiseera, n’asitula n’atambula n’ayitaayita mu bibuga ebiri mu bitundu bya Ggalatiya ne Fulugiya, ng’akyalira abayigirizwa bonna ng’abanyweza mu kukkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yamalayo ebiro si bingi n'avaayo, n'ayitira mu nsi y'e Ggalatiya n'e Fulugiya, ng'ava kumu, ng'agumya abayigirizwa bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yamalayo akabanga, n'avaayo n'agenda ng'ayitaayita mu Galatiya ne mu Furigiya, ng'anyweza abakkiriza bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yamalayo ebiro si bingi n'avaayo, n'ayitira mu nsi y'e Ggalatiya n’e Fulugiya, ng'ava kumu, ng'agumya abayigirizwa bonna.