Acts 18:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali ayigiriziddwako ekkubo ly'Omukama; yali abugujja mu mwoyo, ng'ayigiriza mu butuufu ebifa ku Yezu, sso yali amanyi batismu ya Yowanna yokka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yali ayigirizibbwa Ekkubo lya Mukama, nga w’amaanyi mu mwoyo, era yayogeranga n’ayigiriza bulungi byonna ebifa ku Yesu, wabula ng’amanyi kubatizibwa kwa Yokaana kwokka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo yali ng'ayigiriziddwa ekkubo lya Mukama waffe, ng'ayaka mu mwoyo n'ayogera n'ayigiriza nnyo ebigambo bya Yesu, kyokka ng'amanyi kubatiza kwa Yokaana kwokka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yali ayigiriziddwa Ekkubo lya Mukama, era yeewangayo nnyo okwogera n'okuyigiriza obulungi ebifa ku Yesu, wabula ng'amanyi kubatiza kwa Yowanne kwokka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo yali ng'abuuliddwa ekkubo lya Mukama waffe, ng'ayaka mu mwoyo n'ayogera n'ayigiriza nnyo ebigambo bya Yesu, ng'amanyi okubatiza kwa Yokaana kwokka: