Acts 18:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'asooka okwogera mu sinaagooga n'obuvumu; Prisilla ne Akwila bwe baamuwulira, ne bamutwala ewaabwe, ne bongera okumunnyonnyola mu ngeri esingawo obutuufu ekkubo ly'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atandika okubuulira n’obuvumu mu kkuŋŋaaniro. Awo Pulisikira ne Akula bwe baamuwulira, ne bamuyita mu maka gaabwe ne bamunnyonnyola bingi eby’Ekkubo lya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atandika okwogera n'obuvumu mu kkuŋŋaaniro. Naye Pulisikira ne Akula bwe baamuwulira ne bamutwala mu maka gaabwe ne bongera okumutegeereza ddala ekkubo lya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Prisikila ne Akwila bwe baamuwulira ng'ayogera n'obuvumu mu kkuŋŋaaniro, ne bamutwala ne bongera okumunnyonnyola obulungi Ekkubo lya Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oyo n'atanula okwogera n'obugumu mu kkuŋŋaaniro. Naye Pulisikira ne Akula bwe baawulira ne bamutwala gye bali, ne bongera okumutegeereza ddala ekkubo lya Katonda.