Acts 18:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate bwe yali ayagala okuwunguka alage mu Akayiya, abooluganda ne bamuwagira, ne bawandiikira abayigirizwa bamwanirize. Bwe yatuukayo, n'agasa nnyo abo abaali bakkirizza olw'eneema,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Apolo n’ayagala okuwunguka agende mu Akaya mu Buyonaani, n’abooluganda ne bamuwagira nnyo mu kirowoozo ekyo. Ne bawandiikira bannaabwe abakkiriza mu Buyonaani bamwanirize n’essanyu. Era bwe yatuuka mu Buyonaani, Katonda n’amukozesa nnyo mu kunyweza Ekkanisa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yayagala okuwunguka okutuuka e Akaya, ab'oluganda ne bamugumya ne bawandiikira abayigirizwa okumusembeza: bwe yatuuka n'abayambanga nnyo abakkiriza olw'ekisa:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Apollo bwe yayagala okugenda mu Akaya, Abooluganda ne bamugumya, ne bawandiikira abayigirizwa baayo bamwanirize. Bwe yatuukayo, n'ayamba nnyo abo Katonda be yakwatirwa ekisa ne bafuna okukkiriza,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yayagala okuwunguka okutuuka Akaya, ab'oluganda ne bamugumya ne bawandiikira abayigirizwa okumusembeza: bwe yatuuka n'abayambanga nnyo abakkiriza olw'ekisa: