Acts 18:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga mu lujjudde yawakananga n'amaanyi n'asinga Abayudaaya nga yeeyamba Ebiwandiiko ebitukuvu okukasa nga Yezu ye Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga yasambajja n’amaanyi mangi ensonga Abayudaaya ze baaleetanga nga bawakanya Enjiri mu bantu, n’asinziiranga mu Byawandiikibwa okulaga nti ddala Yesu ye Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga yasinganga Abayudaaya amaanyi amangi mu maaso g'abantu, ng'ategeezanga mu byawandiikibwa nga Yesu ye Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga yawakanyanga nnyo Abayudaaya, n'abasingira mu maaso g'abantu, ng'ajuliza mu byawandiikibwa, okukakasa nti Yesu ye Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga yasinganga Abayudaaya amaanyi amangi mu maaso g'abantu, ng'ategeezanga mu byawandiikibwa nga Yesu ye Kristo.