Acts 18:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga baali ba mulimu gumu, anti baali balusi ba weema, n'abeeranga nabo nga bakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okuba nga baali bakola omulimu gwe gumu ogw’okukola weema, n’abeeranga nabo, era n’akolanga nabo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era kubanga baalina omulimu gwe gumu, nga bakozi ba weema, n'abeeranga nabo, era n'akolanga nabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'abeera nabo, era n'akola nabo, kubanga bonna baalina omulimu gwe gumu, ogw'okukola eweema.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era kubanga baalina omulimu gumu n'abeeranga nabo ne bakolanga omulimu; kubanga omulimu gwabwe baali bakozi ba weema.