Acts 18:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sila ne Timotewo bwe baatuuka nga bava mu Masedoniya, Pawulo ne yeemalira ku kuyigiriza, ng'akakasa eri Abayudaaya nti Yezu ye Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Siira ne Timoseewo bwe baatuuka nga bava mu Makedoniya, Pawulo n’awaayo ekiseera kye kyonna mu kubuulira Ekigambo n’okukakasa Abayudaaya nti Yesu ye Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Siira ne Timoseewo bwe baava e Makedoni, Pawulo neyemalira ku kubuulira ekigambo, ng'ategeeza Abayudaaya nga Yesu ye Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Siila ne Timoteewo bwe baatuuka nga bava mu Makedooniya, Pawulo ne yeemalira ku kutegeeza abantu ekigambo kya Katonda, ng'ategeeza Abayudaaya nti Yesu ye Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Siira ne Timoseewo bwe baava e Makedoni, Pawulo n'awalirizibwa ekigambo, ng'ategeeza Abayudaaya nga Yesu ye Kristo.