Acts 18:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe baamuwakanya n'okumuvuma, n'akunkumula ebyambalo bye, n'abagamba nti: “Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe! Nze siriiko musango; n'okuva kati nzija kulaga mu b'amawanga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abayudaaya bwe baatandika okumuwakanya, era n’okuvvoola erinnya lya Yesu, n’akunkumula ebyambalo bye, n’abagamba nti, “Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe! Nze ndi mulongoofu. Okuva kaakano nnaagendanga eri Abaamawanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abayudaaya bwe batandika okumuwakanya n'okumuvuma, n'akunkumula engoye ze n'abagamba nti, “Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe! Nze ndi mulongoofu, okuva kaakano nnaagenda eri ab'amawanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baamukaayanya era ne bamuvuma, n'akunkumula engoye ze n'abagamba nti: “Bwe mulizikirira, musango gwammwe. Nze siriiko musango. Okuva kati nja kugenda eri ab'amawanga amalala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baamutangira ne bamuvuma, n’akunkumula engoye ze n'abagamba nti Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe: nze ndi mulongoofu: okutanula kaakano nnaagenda eri ab'amawanga.