Acts 18:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'avaayo n'alaga mu nnyumba y'omusajja ayitibwa Titiyo Yusito, omusajja eyali asinza Katonda; ennyumba ye yali eriranaganye ne sinaagooga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Pawulo n’ava eyo n’alaga mu nnyumba ya Tito Yusito, eyasinzanga Katonda, ng’amaka ge galiraanye n’ekkuŋŋaaniro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Pawulo n'avaayo n'agenda mu nnyumba y'omusajja erinnya lye Tito Yusito, atya Katonda, ennyumba ye ng'eriraanye ekkuŋŋaaniro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'avaayo, n'alaga mu nnyumba y'omuntu erinnya lye Tito Yusto, assaamu Katonda ekitiibwa. Ennyumba ye yali eriraanye ekkuŋŋaaniro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'avaayo, n'ayingira mu nnyumba y'omuntu erinnya lye Tito Yusito, atya Katonda, ennyumba ye eriraanye ekkuŋŋaniro.