Acts 18:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kurisipo omukulu wa sinaagooga n'akkiriza Omukama, wamu n'ab'omu maka ge bonna. Era ab'omu Korinti bangi bwe baawulira, ne bakkiriza, ne babatizibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kulisupo, eyali omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’ennyumba ye yonna, ne bakkiriza Mukama waffe, n’abalala bangi ku Bakkolinso abaawulira ne bakkiriza era ne babatizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kulisupo, eyali omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'akkiriza Mukama waffe n'ennyumba ye yonna; n'Abakkolinso bangi bwe baawulira ne bakkiriza ne babatizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Krispo omukulu w'ekkuŋŋaaniro n'ab'omu nnyumba ye bonna ne bakkiriza Mukama. Era ab'e Korinto bangi abaawulira, ne bakkiriza ne babatizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Kulisupo, omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'akkiriza Mukama waffe n'ennyumba ye yonna; n'Abakkolinso bangi bwe baawulira ne bakkiriza ne babatizibwa.