Acts 19:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abamu mu Bayudaaya abagobi b'emyoyo emibi abaagendanga bayitaayita, ne beetumiikiriza okwatula erinnya ly'Omukama Yezu ku abo abaaliko emyoyo emibi nga bagamba nti: “Mbalagira ku lwa Yezu Pawulo gw'ayigiriza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo Abayudaaya abaagendanga nga bagoba baddayimooni ku bantu mu buli kibuga, ne bagezaako okukozesa erinnya lya Mukama waffe Yesu, nga bagamba dayimooni ali ku mulwadde nti, “Mu linnya lya Yesu, Pawulo gw’abuulira, nkulagira omuveeko.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye waliwo abantu Abayudaaya abaagendanga nga bagoba emyoyo emibi, ne beetulinkiriza okwogera erinnya lya Mukama waffe Yesu ku abo abalina dayimooni, nga bagamba nti, “ Mbalayiza Yesu Pawulo gw'abuulira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayudaaya abamu abaatambulatambulanga nga bagoba emyoyo emibi ku bantu, ne beetulinkiriza okukozesa erinnya lya Mukama Yesu okugigoba, nga bagigamba nti: “Nkulagira mu linnya lya Yesu, Pawulo gw'ategeeza abantu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye era abantu Abayudaaya abataliiko waabwe, abagoba dayimooni, ne beetulinkirira okwogera erinnya lya Mukama waffe Yesu ku abo abalina dayimooni, nga bagamba nti Mbalayiza Yesu Pawulo gw'abuulira.