Acts 19:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omuntu eyalimu omwoyo omubi n'ababuukira, n'abanyweza bonna n'abamala amaanyi, ne bafubutuka mu nnyumba nga bali bwereere, ate nga baliko n'ebiwundu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ababuukira n’abasinza amaanyi bonna, n’abataagulataagula nnyo, ne bafubutuka mu nnyumba nga bali bwereere, era nga baliko ebiwundu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu eyaliko dayimooni n'ababuukira n'abasinza bonna amaanyi, n'abataagulataagula, n'okudduka ne badduka okuva mu nnyumba eri nga bali bwereere nga balina ebiwundu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omuntu eyaliko omwoyo omubi n'ababuukira, n'abasinza amaanyi n'abawangula, ne badduka nga bali bwereere, nga baliko ebiwundu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu eyaliko dayimooni n'ababuukira n'abasinga bonna n'abayinza, n'okudduka ne badduka okuva mu nnyumba eri nga bali bwereere nga balina ebiwundu.