Acts 19:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyo bwe byaggwa, Pawulo n'ateesa mu Mwoyo Mutuukirivu okuyita mu Masedoniya, ne Akayiya agende e Yeruzaalemu, ng'agamba nti: “Bwe ndimala okubeera eyo, nteekwa okulaba Roma.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebyo okutuukirira Pawulo n’alowooza mu mutima okugenda e Yerusaalemi ng’ayitira mu Makedoniya ne mu Akaya. N’agamba nti, “Bwe ndiva eyo kinsaanira nkyaleko ne mu Ruumi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo bwe byaggwa, Pawulo n'alowooza mu mwoyo okuyitira mu Makedoni ne Akaya, n'okugenda e Yerusaalemi, ng'agamba nti, “Bwe ndiva eyo, kiriŋŋwanira era okugenda e Ruumi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, Pawulo n'ateesa okuyita mu Makedooniya ne mu Akaya, alyoke agende e Yerusaalemu. N'agamba nti: “Bwe ndimala okutuukayo, nteekwa okugenda n'e Rooma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyo bwe byaggwa, Pawulo n'alowooza mu mwoyo okuyitira mu Makedoni ne Akaya, n'okugenda e Yerusaalemi, ng'agamba nti Bwe ndimala okubeera eyo, era kiŋŋwanidde okulaba ne Ruumi.