Acts 19:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'atuma babiri ku bayambi be, Timotewo ne Erasto, mu Masedoniya, ye n'agira ng'asigala mu Aziya akabanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’asindika babiri ku baamuyambanga, Timoseewo ne Erasuto e Makedoniya, ye n’asigala mu kitundu kya Asiya okumala ebbanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atuma e Makedoni babiri ku abo abaamuweerezanga, Timoseewo ne Erasuto, ye n'asigala mu Asiya okumala ekiseera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atuma e Makedooniya babiri ku abo abaamuyambanga, Timoteewo ne Erasto, kyokka ye n'agira ng'akyasigadde mu Asiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atuma e Makedoni babiri ku abo abaamuweerezanga, Timoseewo ne Erasuto, ye yennyini n'alwayo ebiro si bingi mu Asiya.