Acts 19:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga omusajja ayitibwa Demeturiyo, omuweesi wa ffeeza, eyakolanga obusabo bwa ffeeza obwa Aritemi, abafundi yali abafunidde omulimu munene.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo omusajja erinnya lye Demeteriyo, yali muweesi wa bintu bya ffeeza, era nga y’akola obusabo obwa ffeeza obwa Atemi obwaleetanga amagoba mangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omuntu erinnya lye Demeteriyo, omuweesi wa ffeeza eyakolanga obusabo obwa ffeeza obwa Atemi obwafuniranga abaweesi amagoba amangi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja ayitibwa Demetiriyo omuweesi, eyakolanga obusabo obwa ffeeza obwa lubaale omukazi Arutemi, omulimu gwe gwaleeteranga abaweesi obugagga bungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omuntu erinnya lye Demeteriyo, omuweesi wa ffeeza eyakolanga obusabo obwa ffeeza obwa Atemi n'afuniranga abaweesi amagoba si matono;