Acts 19:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano yabakuŋŋaanya wamu n'abalala abaakolanga omulimu ogw'engeri eyo, n'abagamba nti: “Bassebo, mumanyi nga mu mulimu guno mwe muva amagoba gaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Demeteriyo n’ayita abakozi be bonna wamu n’abo abakola emirimu egikwatagana n’egigye, ne bakuba olukuŋŋaana. N’alyoka ayogera nabo nti, “Mumanyi nti mu mulimu guno mwe tuggya obugagga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'akuŋŋaanya abo n'abaakolanga emirimu egyo, n'agamba nti, “ Abasajja, mumanyi nti omulimu ogwo obugagga bwaffe mwe buva;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo n'akuŋŋaanya abaweesi bonna abaakolanga omulimu ogwo, n'agamba nti: “Bannange, mumanyi ng'obugagga bwaffe buva mu mulimu guno.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'akuŋŋaanya abo n'abaakolanga emirimu egyo, n'agamba nti Abasajja, mumanyi nti omulimu ogwo obugagga bwaffe mwe buva;