Acts 19:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso mulaba, n'okuwulira muwulira nga Pawulo ono afukuutirira n'akyusa abantu nkumu, si mu Efezi mwokka, naye ne mu Aziya yonna, ng'agamba nti balubaale abakolebwa n'engalo si balubaale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale kaakano, nga mwenna bwe mulabye ne bwe muwulidde, omusajja ono Pawulo asenzesenze abantu bangi nnyo wano mu Efeso ne mu Asiya, okubakkirizisa nti bakatonda abakolebwa n’emikono si bakatonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mulaba era muwulira nga si mu Efeso mwokka naye ne mu Asiya yonna Pawulo oyo asenzesenze era akyusizza ekibiina kinene, ng'agamba nti, ‘Abakolebwa n'emikono si bakatonda.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mulaba era muwulira nga Pawulo asenzesenze, era akyusizza abantu bangi, si mu Efeso mwokka naye ne mu Asiya yonna, ng'agamba nti: ‘Abakolebwa abantu si Katonda.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mulaba era muwulira nga si mu Efeso mwokka naye nga mu Asiya yonna Pawulo oyo asenzesenze era akyusizza ekibiina kinene, ng'agamba nti Abakolebwa n'emikono si bakatonda.