Acts 19:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno si mulimu gwaffe gwokka gwe gunaafeeba, naye n'ekiggwa kya Aritemi kyennyini kijja kuggwaamu ensa, naye yennyini ajja kufiirwa ekitiibwa kye, sso nga Aziya yonna n'ensi yonna gwe bisinza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino kya kabi gye tuli naye si mu Efeso mwokka naye ne mu kitundu kyonna ekya Asiya ne ku yeekaalu ya Atemi ne ku mukazi Oweekitiibwa Atemi. Kubanga ettutumu ly’alina lijja kumuggwaako, mu bitundu byonna ebya Asiya ne mu nsi gy’asinzibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye si ffe fekka abali mu kabi ak'omulimu gwaffe okunyoomebwanga, naye n'essabo lya Atemi katonda omukulu omukazi okulowoozebwanga nga si kintu, n'oyo n'okuggibwa n'aggibwa mu kitiibwa kye, asinzibwa Asiya yonna n'ensi zonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tuli mu kabi, si lwa mulimu gwaffe kunyoomebwa kyokka, naye abantu bajja kunyoomoola essabo lya lubaale omukazi Arutemi oweekitiibwa, asinzibwa Asiya yonna n'ensi endala zonna, era ekitiibwa kye kijja kuggwaawo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye si ffe fekka tulabye akabi omulimu gwaffe okunyoomebwanga, era naye n'essabo lya Atemi katonda omukulu omukazi okulowoozebwanga nga si kintu, n'oyo n'okuggibwa n'aggibwa mu kitiibwa kye, asinzibwa Asiya yonna n'ensi zonna.