Acts 19:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibuga kyonna ne kijjula akajagalalo, abantu ne bafubutukira wamu nga balaga mu luggya lw'emizannyo, nga bawalaawala Gayiyo ne Aristariko, Abamasedoni, banne ba Pawulo abaamuwerekeranga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibuga ne kijjula akayuuguumo, abantu bonna ne badduka nga balaga mu kifo omwazanyirwanga emizannyo nga bwe basikaasikanya Gayo ne Alisutaluuko, abaatambulanga ne Pawulo, babatwale babawozese.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibuga kyonna ne kijjula okwetabula kuno; ne bafubutuka n'omwoyo gumu okutuuka mu Teyatero, nga bwe bawalula Gayo ne Alisutaluuko, ab'e Makedoni, abaatambulanga ne Pawulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ekibuga kyonna ne kibuna akatabanguko. Abantu ne bakwata Gaayo ne Arisitaruuko ab'e Makedooniya abaatambulanga ne Pawulo. Abantu bonna ne bafubutuka, ne beeyiwa mu kifo ky'emizannyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekibuga kyonna ne kijjula okwetabula kuno; ne bafubutuka n'omwoyo gumu okutuuka mu teyatero, bwe baamala okukwata Gayo ne Alisutaluuko, ab'e Makedoni, abaatambulanga ne Pawulo.