Acts 19:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abamu ku bakungu ab'omu ttwale lya Aziya abaali mikwano gye ne bamutumira nga bamwegayirira aleme kwetantala luggya lwa mizannyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abamu ku b’omu Asiya, abaali mikwano gya Pawulo, ne bamutumira aleme kwewaayo kuyingira mu kifo omwazanyirwanga emizannyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abakulu abamu aba Asiya, abaali mikwano gye, ne bamutumira nga bamwegayirira aleme okwewaayo mu Teyatero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abamu ku bakungu ab'omu Asiya, abaali mikwano gye, ne bamutumira nga bamusaba aleme kugezaako kugenda mu kifo ky'emizannyo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abakulu abamu aba Asiya, abaali mikwano gye, ne bamutumira nga bamwegayirira aleme okwewaayo mu teyatero.