Acts 19:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bayoogaana, abamu kino, abalala kiri, kubanga ekibiina kyali kitabanguse, ate abasinga obungi baali tebamanyi na nsonga ebakuŋŋaanyisizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu abaali munda ne bamala galeekaana, ng’abamu boogera kino n’abalala kiri kubanga ekibiina kyali kitabusetabuse. Abasinga obungi nga n’okumanya tebamanyi nsonga yennyini ebakuŋŋaanyisizza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abamu ne boogerera waggulu bulala, n'abalala bulala, kubanga ekibiina kyali kyetabudde, so n'abalala bangi ne batategeera nsonga ebakuŋŋaanyizza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga abantu baali mu kajagalalo, nga baleekaana, abamu nga boogera kino, abalala nga boogera kiri, era bangi baali tebamanyi na nsonga ebakuŋŋaanyizza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abamu ne boogerera waggulu bulala, n'abalala bulala, kubanga ekibiina kyali kyetabudde, so n'abalala bangi ne batategeera nsonga ebakuŋŋaanyizza.