Acts 19:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abamu mu kibiina ne bawa Alekisanduro amagezi, anti Abayudaaya baali bamusindikirizza mu maaso. Alekisanduro n'abawenyaako n'omukono, ng'ayagala okubayitira mu nsonga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayudaaya abamu bwe baalengera Alegezanda ng’ali mu kibiina ne bamusika okumuleeta mu maaso. N’akoma ku bantu basirike abeeko ky’abagamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baggya Alegezanda mu kibiina, Abayudaaya nga bamusindiikiriza. Alegezanda n'abawenya n'omukono n'ayagala okwennyonnyola ko eri abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne baggya Alekizanda mu kibiina ky'abantu, Abayudaaya nga bamusindiikiriza. Awo Alekizanda n'abawenya n'omukono, yennyonnyoleko eri abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baggya Alegezanda mu kibiina, Abayudaaya nga bamusindiikiriza. Alegezanda n'abawenya n'omukono n'ayagala okwennyonnyola eri abantu.