Acts 19:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kyazira kumanya nga Muyudaaya, bonna ne bayoogaanira waggulu okumala ng'essaawa bbiri nti: “Aritemi ow'ab'omu Efezi mukulu!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ekibiina bwe kyategeera nga Muyudaaya, bonna ne baddamu buto okuleekaana nti, “Atemi ow’Abaefeeso ye Mukulu!” Ne bakiddiŋŋana emirundi n’emirundi okumala ng’essaawa bbiri nnamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe baamutegeera nga Muyudaaya, bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi limu okumala ng'essaawa bbiri nti, “ Atemi w'Abaefeso mukulu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe baamanya nga Muyudaaya ne baleekaanira wamu okumala essaawa nga bbiri, nga bagamba nti: “Arutemi w'Abeefeso mukulu!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe baamutegeera nga Muyudaaya, bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi limu okumala ng'essaawa bbiri nti Atemi w'Abaefeso mukulu.