Acts 19:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuwandiisi w'ekibuga bwe yamala okukkakkanya ekibiina, n'agamba nti: “Basajja ab'omu Efezi, muntu ki atamanyi ng'ekibuga ky'ab'omu Efezi kye kikuuma ekiggwa kya Aritemi n'ekifaananyi kye ekyava mu ggulu ne kigwa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omukulu w’ekibuga n’abasirisa n’ayogera nabo nti, “Abasajja Abaefeso, buli muntu yenna amanyi nti Efeso mwe mukuumirwa essabo ekkulu ery’omukulu Atemi, gwe tumanyi ng’ekifaananyi ekyava mu ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuwandiisi bwe yasirisa ekibiina, n'agamba nti, “ Abasajja Abaefeso, muntu ki atategeera ng'ekibuga ky'Abaefeso kye kikuuma essabo lya Atemi omukulu n'ekifaananyi ekyava eri Zewu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuwandiisi w'ekibuga bwe yasirisa abantu, n'agamba nti: “Abasajja Abeefeso, ani atamanyi ng'ekibuga ky'Abeefeso kye kikuuma essabo lya Arutemi Oweekitiibwa, awamu n'ekifaananyi kye ekyava mu ggulu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuwandiisi bwe yasirisa ekibiina, n'agamba nti Abasajja Abaefeso, muntu ki atategeera ng'ekibuga ky'Abaefeso kye kikuuma essabo lya Atemi omukulu n'ekifaananyi ekyava eri Zewu.