Acts 19:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pawulo n'agamba nti: “Yowanna yabatizanga na batismu ya kubonerera, ng'agamba abantu okukkiriza oyo eyali ow'okumuddirira, kwe kugamba nti Yezu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Pawulo n’abagamba nti, “Yokaana yabatiza okubatiza okw’okwenenya eri abantu ng’agamba nti agenda okujja oluvannyuma lwe bamukkirize. Kino kitegeeza nti ye Yesu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Pawulo n'ayogera nti, “Yokaana yabatiza okubatiza okw'okwenenya, ng'agamba abantu bakkirize agenda okujja oluvannyuma lwe, ye Yesu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pawulo n'abagamba nti: “Yowanne yabatiza abantu nga ke kabonero akalaga nti beenenyezza, ng'abagamba bakkirize oyo amuvaako emabega, ye Yesu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Pawulo n'ayogera nti Yokaana yabatiza okubatiza okw'okwenenya, ng'agamba abantu bakkirize agenda okujja ennyuma we, ye Yesu.