Acts 19:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga naffe tuli mu kacwano, bayinza okutuvunaana olw'akajagalalo olwa leero, kubanga tewali nsonga gye tusobola kuwa olw'olukuŋŋaana luno.” Bwe yamala okwogera ebyo, n'ayabula olukuŋŋaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga singa tetwegendereza, tujja kuvunaanibwa olw’akasasamalo ka leero, kubanga tetujja kuba na kya kwogera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ddala tuyinza okutuukwako akabi olw'akeegugungo kano aka leero, kubanga tewali nsonga gye tuliyinza kuwoza olw'okukuŋŋaana kuno.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga tuyinza okuvunaanibwa olw'akeegugungo kano aka leero. Tetulina nsonga gye tuyinza kuwa olw'olukuŋŋaana luno.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ddala tuyinza okutuukwako akabi olw'akeegugungo kano aka leero, kubanga tewali nsonga gye tuliyinza kuwoza olw'okukuŋŋaana kuno.