Acts 19:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'ayingira mu sinaagooga, n'ayigiririzaayo emyezi esatu n'obuvumu, ng'awakana ate ng'afuba okukkirizisa obwakabaka bwa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Pawulo n’ayingiranga mu kkuŋŋaaniro buli lwa Ssabbiiti ng’abuulira n’obuvumu bungi okumala emyezi esatu, n’abategeezanga ekyo ky’akkiriza era n’ensonga kyava akkiriza, n’asendasenda bangi okukkiriza ebintu by’obwakabaka bwa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'ayogeranga n'obuvumu okumala emyezi esatu, ng'awakananga era ng'asendasendanga abantu okukkiriza ebigambo eby'obwakabaka bwa Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Pawulo n'ayingira mu kkuŋŋaaniro, n'ayogera n'obuvumu, ng'awaanyisaganya nabo ebirowoozo, ng'agezaako okubakkirizisa ebifa ku Bwakabaka bwa Katonda. N'amala emyezi esatu ng'akola bw'atyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'ayogeranga n'obuvumu okumala emyezi esatu, ng'awakananga era ng'asendasendanga olw'ebigambo eby'obwakabaka bwa Katonda.