Acts 2:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Petero n'ayimirira ng'ali wamu n'ekkumi n'omu, n'akangula ku ddoboozi, n'abagamba nti: “Basajja Abayudaaya, nammwe mwenna abasula mu Yeruzaalemu, kino mukimanye, ebigambo byange mubitegere amatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Peetero n’asituka n’abatume ekkumi n’omu, n’asitula ku ddoboozi n’ayogera eri ekibiina, n’abagamba nti, “Abasajja Abayudaaya, nammwe mwenna ababeera mu Yerusaalemi, mutegeere bino era mumpulirize.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Peetero bwe yayimirira ne bali ekkumi n'omu (11), n'ayogerera waggulu n'abagamba nti, “ Abasajja Abayudaaya n'abatuula mu Yerusaalemi mwenna, mutegeere kino era muwulirize ebigambo byange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Peetero ng'ali n'abatume abalala ekkumi n'omu, n'ayimirira, n'akangula ku ddoboozi, n'agamba nti: “Bayudaaya bannange, nammwe mwenna ababeera mu Yerusaalemu, muwulirize, mutegeere bye ŋŋenda okwogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Peetero bwe yayimirira ne bali ekkumi n'omu, n'ayogerera waggulu n’abagamba nti Abasajja Abayudaaya n'abatuula mu Yerusaalemi mwenna, mutegeere kino, mutegere amatu ebigambo byange.