Acts 2:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bano si batamiivu nga mmwe bwe mulowooza, anti kati essaawa ziri ssatu zokka ez'oku makya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bano tebatamidde nga bwe mulowooza, kubanga essaawa ziri ssatu ez’enkya!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bano tebatamidde, nga mmwe bwe mulowooza; kubanga ye ssaawa ey'okusatu ey'emisana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bano tebatamidde, nga mmwe bwe mulowooza, kubanga kati essaawa zikyali ssatu ez'oku makya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bano tebatamidde, nga mmwe bwe mulowooza; kubanga ye ssaawa ey'okusatu ey'emisana.