Acts 2:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Mu nnaku ez'oluvannyuma ekiribaawo, Omukama y'agamba, ndiyiwa Mwoyo wange ku bantu bonna, batabani bammwe ne bawala bammwe baliranga, n'abavubuka bammwe balirabikirwa, ate n'abakadde bammwe baliroota ebirooto;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma, bw’ayogera Katonda, ndifuka Omwoyo wange ku balina omubiri bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliwa obunnabbi; n’abavubuka bammwe balyolesebwa, n’abakadde baliroota ebirooto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ ‘Olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma, bw'ayogera Katonda, Ndifuka Omwoyo gwange ku balina omubiri bonna: Batabani bammwe ne bawala bammwe balyogera obunnabbi, N'abalenzi bammwe baliraba okwolesebwa, N'abakadde bammwe baliroota ebirooto:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Katonda agamba nti: Mu nnaku ez'oluvannyuma, ndigabira abantu bonna Mwoyo wange. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliranga ebirijja. Abavubuka bammwe balirabikirwa, n'abakadde mu mmwe baliroota ebirooto.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma, bw'ayogera Katonda, Ndifuka ku omwoyo gwange ku balina omubiri bonna: Batabani bammwe ne bewala bammwe baliragula, N'abalenzi bammwe baliraba okwolesebwa, N'abakadde bammwe baliroota ebirooto: