Acts 2:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ono eyaweebwayo nga Katonda bwe yali amaze okukiteesa n'okukimanya, mwamubonyaabonya ne mumutta n'emikono gy'ababi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ng’enteekateeka ya Katonda bwe yali, omuntu oyo yaweebwayo mu mikono gy’abantu abatagoberera mateeka, ne mumutta nga mumukomeredde ku musaalaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
oyo bwe yaweebwayo nga Katonda bwe yasooka okuteesa n'okumanya, mwamutwala ne mumukomerera n'emikono gy'abantu ababi, ne mu mutta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu oyo yaweebwayo, nga Katonda bwe yali amaze okuteesa n'okumanya, ne mumukwasa abantu ababi okumukomerera ku musaalaba, ne mumutta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oyo bwe yaweebwayo nga Katonda bwe yasooka okuteesa n'okumanya, mwamutwala ne mumukomerera n'emikono gy'abantu ababi, ne mumutta.