Acts 2:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Katonda yamuzuukiza ng'amuwonya obulumi bw'olumbe, kubanga kyali tekiyinzika lumbe kumwekomya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka Katonda yamuzuukiza ng’asaanyizaawo obulumi bw’okufa, kubanga okufa tekwayinza kumunyweza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye oyo Katonda yamuzuukiza, bwe yasumulula okulumwa kw'okufa: kubanga tekwayinza kumunyweza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Katonda yamuzuukiza, n'amuggya mu bulumi bw'okufa, kubanga okufa kwali nga tekuyinza kumunywereza ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oyo Katonda yamuzuukiza, bwe yasumulula okulumwa kw'okufa: kubanga tekwayinza kumunyweza.