Acts 2:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abasajja abooluganda, muleke njogere ku jjajjaffe Dawudi nga sitya; yafa n'aziikibwa, n'amalaalo ge gali mu ffe n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abasajja abooluganda, nnyinza okwogera n’obuvumu gye muli ku bifa ku jjajjaffe Dawudi nga yafa n’aziikibwa, era n’amalaalo ge weegali ne kaakano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Abasajja ab'oluganda, nnyinza okwogera n'obuvumu mu maaso gammwe ebya jjajjaffe omukulu Dawudi nti yafa n'aziikibwa, n'amalaalo ge gali waffe ne kaakano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abooluganda, nnyinza okubategeeza ebifa ku jjajjaffe omukulu Dawudi nga sirina kutya. Dawudi oyo yafa n'aziikibwa, n'amasiro ge gali wano ewaffe n'okutuusa kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja ab'oluganda, nnyinza okwogerera n'obuvumu mu maaso gammwe ebya jjajjaffe omukulu Dawudi nti yafa n'aziikibwa, n'amalaalo ge gali waffe ne kaakano.