Acts 2:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nno kubanga yali mulanzi, yali amanyi nti Katonda yamulayirira n'ekirayiro nti omwana owuwe amuva munda alituula ku ntebe ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Dawudi yali nnabbi, n’amanya nga Katonda yamulayirira ekirayiro, nti mu bibala eby’omu ntumbwe ze mwe muliva alituula ku ntebe ey’obwakabaka bwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, nga bwe yali nnabbi, bwe yamanya nga Katonda yamulayirira ekirayiro, nti mu bazzukulu ab'omu ntumbwe ze alituuzaako omuntu ku ntebe ye;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi yali mulanzi, era yamanya Katonda kye yamusuubiza ng'alayira n'okulayira nti omu ku bazzukulu be, alisikira entebe ey'obwakabaka bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, bwe yali nnabbi, bwe yamanya nga Katonda yamulayirira ekirayiro, nti mu bazzukulu b'omu ntumbwe ze alituuzaako omuntu ku ntebe ye;