Acts 2:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu nno ng'amaze okugulumizibwa ku gwa ddyo ogwa Katonda, ng'amaze okufuna Mwoyo Mutuukirivu omusuubize okuva ewa Taata, n'alyoka atuyiira kino kye mulaba era kye muwulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe yagulumizibwa n’alaga ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, n’aweebwa Mwoyo Mutukuvu eyamusuubizibwa Kitaffe, n’alyoka atuwa kino nammwe kye mwerabiddeko era kye mwewuliriddeko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yalinnyisibwa ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, n'aweebwa okusuubiza kw'Omwoyo Omutukuvu eri Kitaawe, afuse kino kye mulabye kaakano era kye muwulidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yamala okulinnyisibwa n'aliraana Katonda ku ludda lwe olwa ddyo, era n'afuna Mwoyo Mutuukirivu eyamusuubizibwa Katonda Kitaawe, n'alyoka agaba ekirabo kye kino, kye mulabye era kye muwulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yalinnyisibwa ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, n'aweebwa okusuubiza kw'Omwoyo Omutukuvu eri Kitaawe, afuse kino kye mulabye kaakano kye muwulidde.