Acts 2:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi teyalinnya mu ggulu, sso ye yennyini yagamba nti: “ ‘Omukama yagamba mukama wange, nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Dawudi teyalinnya mu ggulu, naye agamba nti, “ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti, “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Dawudi teyalinnya mu ggulu, naye yayogera yennyini nti,” “ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi teyalinnya mu ggulu, sso ye yennyini yagamba nti: ‘Katonda yagamba Mukama wange nti: Tuula ng'onninaanye ku ludda lwange olwa ddyo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Dawudi teyalinnya mu ggulu, naye yayogera yennyini nti Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,