Acts 2:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno ennyumba ya Yisirayeli yonna emanyire ddala nti Yezu ono gwe mwakomerera Katonda yamufuula Mukama era Kristu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Noolwekyo ennyumba yonna eya Isirayiri, bamanyire ddala nti oyo Yesu gwe mwakomerera ku musaalaba, Katonda yamufuula Mukama era Kristo!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kale mazima bamanye ennyumba yonna eya Isiraeri nti Katonda yamufuula Mukama era Kristo, Yesu oyo gwe mwakomerera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale nno, abantu ba Yisirayeli bonna bamanye awatali kubuusabuusa, nti Yesu oyo gwe mwakomerera ku musaalaba, Katonda yamufuula Mukama era Kristo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mazima bamanye ennyumba yonna eya Isiraeri nti Katonda yamufuula Mukama era Kristo, Yesu oyo gwe mwakomerera.