Acts 2:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baawulira ebyo, emitima ne gimenyeka; kwe kugamba Petero n'Abatume abalala nti: “Basajja abooluganda, kale tukole ki?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe baawuulira ebigambo ebyo, emitima ne gibaluma, ne bagamba Peetero n’abatume abalala, nti, “Abooluganda, kiki kye tusaanidde okukola?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baawulira ebyo emitima gyabwe ne gibaluma, ne bagamba Peetero n'abatume abalala nti, “Abasajja ab'oluganda, tunaakola tutya?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bwe baawulira ebyo, ne beeraliikirira nnyo, ne bagamba Peetero n'abatume abalala nti: “Abooluganda, tukole ki?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baawulira ebyo emitima gyabwe ne gibaluma, ne bagamba Peetero n'abatume abalala nti Abasajja ab'oluganda, tunaakola tutya?