Acts 2:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Petero n'abagamba nti: “Mubonerere ate buli omu mu mmwe abatizibwe mu linnya lya Yezu Kristu, ebibi byammwe bisonyiyibwe; ate mujja kufuna ekirabo kya Mwoyo Mutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Peetero n’abagamba nti, “Mwenenye, buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo musonyiyibwe ebibi byammwe, olwo nammwe mujja kufuna ekirabo ekya Mwoyo Mutukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Peetero n'abagamba nti, “ Mwenenye, mubatizibwe buli muntu mu mmwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo okuggyibwako ebibi byammwe, munaaweebwa ekirabo gwe Mwoyo Omutukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Peetero n'abagamba nti: “Mwenenye, era buli omu mu mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo, mulyoke musonyiyibwe ebibi byammwe, era munaafuna ekirabo, ye Mwoyo Mutuukirivu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Peetero n'abagamba nti Mwenenye, mubatizibwe buli muntu mu mmwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo okuggibwako ebibi byammwe, munaaweebwa ekirabo gwe Mwoyo Omutukuvu.