Acts 2:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti mmwe mwasuubizibwa: mmwe n'abaana bammwe, n'abo bonna abali ewala, bonna Omukama Katonda waffe b'aliba ayise.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ekisuubizo kiri eri mmwe n’eri abaana bammwe, n’eri bonna abali mu nsi ezeewala abalikoowoola Mukama Katonda waffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga okusuubizibwa kwammwe era kw'abaana bammwe n'abo bonna abali ewala, bonna abaliyitibwa Mukama Katonda waffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga kino Katonda yakibasuubiza mmwe, n'abaana bammwe, era n'abo bonna abali ewala, bonna Mukama Katonda waffe b'aliyita.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga okusuubizibwa kwammwe era kwa baana bammwe n'abo bonna abali ewala, bonna abaliyitibwa Mukama Katonda waffe.