Acts 2:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'ebigambo ebirala bingi n'ababuulira n'okubakubiriza ng'agamba nti: “Mwewonye ezzadde lino ekkyamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Peetero n’abategeeza mu bigambo ebirala bingi n’ababuulira ng’agamba nti mulokolebwe okuva mu mulembe guno ogwakyama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'abategeeza mu bigambo ebirala bingi n'ababuulirira ng'agamba nti, “ Mulokolebwe okuva mu mirembe gino egyakyama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Peetero n'ayongera okubategeeza mu bigambo ebirala bingi, n'abagamba nti: “Mulokolebwe, mwewonye ekibonerezo ekigenda okuweebwa ab'omulembe guno omubi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'abategeeza mu bigambo ebirala bingi n'ababuulirira ng'agamba nti Mulokolebwe mu mirembe gino egyakyama.