Acts 2:46 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era buli lunaku baagendanga wamu mu Kiggwa kya Katonda, nga bamenya omugaati mu maka gaabwe; emmere yaabwe nga bagiriisa ssanyu n'omutima gumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne banyiikiranga okukuŋŋaananga mu Yeekaalu buli lunaku, era ne bakuŋŋaananga ne mu maka gaabwe nju ku nju okumenya omugaati, ne baliiranga wamu emmere yaabwe n’essanyu lingi n’omutima ogutalina bukuusa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nabo nga banyiikiranga bulijjo n'omwoyo gumu okukuŋŋaana mu Yeekaalu, ne bamenyanga emigaati mu nnyumba zaabwe, ne balyanga emmere n'essanyu n'omutima ogutalina bukuusa,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baanyiikiranga okukuŋŋaanira mu Ssinzizo buli lunaku. Era mu maka gaabwe baaliirangamu emmere yaabwe nga bajjudde essanyu n'okukkaanya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nabo nga banyiikiriranga bulijjo n'omwoyo gumu mu yeekaalu, nga bamenya emigaati mu nnyumba eka, ne balyanga emmere n'essanyu n'omutima ogutalina bukuusa,