Acts 2:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Yeruzaalemu mwalimu Abayudaaya, abantu abasomi abaali bavudde mu mawanga gonna agali wansi w'eggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo Abayudaaya bangi abatya Katonda abaali bazze mu Yerusaalemi nga bavudde mu buli ggwanga wansi w’eggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo waaliwo Abayudaaya abaali babeera mu Yerusaalemi, abantu abatya Katonda, abaava mu buli ggwanga ly'abantu wansi w'eggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu Yerusaalemu mwalimu Abayudaaya, abasajja abajjumbira eddiini, abaali bavudde mu buli kitundu kya nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waaliwo mu Yerusaalemi Abayudaaya nga batudde, abantu abeegendereza, abaava mu buli ggwanga ly'abantu wansi w'eggulu.