Acts 2:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuwuuma okwo bwe kwawulikika, ebbiina ne lyesomba, ne basamaalirira, kubanga buli omu yabawuliranga nga boogera mu lulimi lwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baawulira okuwuuma okwo, ekibiina kinene ne kikuŋŋaana, ne beewuunya okuwulira nga buli muntu awulira olulimi lw’ewaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuwuuma okwo bwe kwabaawo, ekibiina ne kikuŋŋaana ne kisamaalirira, kubanga buli muntu yawulira nga boogera mu lulimi lw'ewaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baawulira okuwuuma okwo, ne bakuŋŋaana bangi, ne basamaalirira, kubanga buli omu yawulira abakkiriza Kristo nga boogera mu lulimi lwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuwuuma okwo bwe kwabaawo, ekibiina ne kikuŋŋaana ne kisamaalirira, kubanga baawulira buli muntu nga boogera mu lulimi lw'ewaabwe,