Acts 20:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pawulo n'akka gy'ali n'akutama w'ali n'amuwambaatira, n'agamba nti: “Muleke kutya, akyalimu akalamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Pawulo n’akka wansi n’amusitula n’amuwambaatira mu mikono gye. N’agamba nti, “Temweraliikirira, mulamu!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Pawulo n'akka wansi n'amusitulawo, n'agamba nti, “Temukuba biwoobe; obulamu bwe mwe buli munda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pawulo n'akka, n'akutama w'ali n'amuwambaatira, n'agamba nti: “Temweraliikirira, akyalimu obulamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Pawulo n'akka n'amugwako n'amuwambaatira n'agamba nti Temukuba biwoobe; obulamu bwe mwebuli munda.