Acts 20:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ayambuka waggulu, n'amenya omugaati, nalya, n'ayogera nabo ebbanga ddene okutuusa obudde okukya, n'alyoka agenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bonna ne baddayo waggulu ne bamenya omugaati ne balya. Pawulo ne yeyongera okwogera okutuusiza ddala obudde okukya, n’alyoka asitula n’agenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'addayo waggulu n'amenya omugaati ne balya. Pawulo ne yeyongera okunyumya okutuusiza ddala obudde okukya, n'alyoka avaayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'addayo waggulu, n'amenyaamenyamu omugaati n'alyako, n'ayogera nabo okutuusiza ddala obudde okukya, n'alyoka avaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alinnya n'amenya omugaati n'alyako n'alwawo ng'akyanyumya okutuusa enkya, n'alyoka avaayo.